Amawulire
Abayizi balwanaganye omu nafa
Bya Ivan Ssenabulya
Omuyizi omu owe ssomero lya Kigezi high school mu distrct ye Kabale yaafiridde, mu kulwanagana ne banaabwe aba Nyabikoni SS, bwebamukubye amayinja.
Omugenzi ye Rogers Bakashaba abadde asoma S. 5 ngabadde ava mu district ye Mbarara.
Bino bibaddewo abayizi ba Nyabikoni SS abwebabalumbye, ku kyalo Kanyakyiriro mu munispaali ye Kabale.
Omwogezi wa poliisi Eli Matte agambye nti bakutte abayizi 28 bebagenda okuyambako mu kunonyereza okugenda mu maaso, okuzuula ddala kiki ekyavuddeko olutalo luno.