Amawulire

Abateberezebwa okuba ne Ebola e Kasese baweze 7

Abateberezebwa okuba ne Ebola e Kasese baweze 7

Ivan Ssenabulya

June 12th, 2019

No comments

Bya Ivan Senabulya, Ministry ye by’obulamu etegezezza ng’omuwendo gw’abantu abateberezebwa okuba ne kirwadde kya Ebola mu district ye Kasese gulinye okuva ku 3 okutuuka ku 7.

Bw’abadde ayogerako ne banamawuliire kkifo awakumibwa abateberezebwa okuba ne kirwadde e Bwera minister we by’obulamu doctor Jane Ruth Acenge agamba nti ku basatu abakakasidwa okuba ne kirwadde kino omu afudde

Kubateberezebwa omusanvu kuliko maama w’omugenzi taata n’ow’oluganda .

Minister wabula agamba ku bateberezebwa tekuli n’omu yalazze kabonero wadde nga bakyabateberezza.

Omwana ono gavumenti egamba nti yayingidde Uganda, ne maama we nga 10 June, nga bava mu ggwanga lya DRC, omukazi gyeyali agenze okujanjaba kitaawe naye eyafa Ebola.

Kati ministry eri muntekanteeka z’okugema abasawo bonna abali kumwajo okukwatiibwa ekilwadde kino ku lw’okutaano.