Ebyobulamu
Eddagala ly’abagabi b’obuyambi libeera lyayitako
Bya Prosy Kisakye
Eddagala erisinga mu gwanga eriva bagabi b’obuyambi libeera lyayitako obanga nerimu linatera okuyitako.
Kino kibikuddwa ssentebbe ow’ekitongole kye ddagala mu gwanga ekya National Drug Authority Dr. Medard Bitekyerezo, nga bajaguza emyaka 25 nga balaungamya ebye ddagala mu Uganda.
Ategezezza nti kino kiva ku kuba nti Uganda gwanga erikyakula, ngebitongole ebisinga balilowozaako nnyo nga bejjako eddagala.