Amawulire
Butuluuki yakuwagira Uganda mu sayaansi ne technologia
Bya Prossy Kisakye, Omubaka wa Butuluuki mu Uganda Fikret Kerem asabye bannayuganda okwongera okwettanira entekateeka za sayaansi ne tekinologiya nga kino ky’ekiyinza okuyambako abayizi okuvaayo ne bippya ebiyinza okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu ggwanga.
Bino ya byogeredde ku ttendekero lya Basiraamu erya Islamic university in Uganda mu Kampala bweyabadde atongoza essomo eppya erimanyiddwa nga 3D Modelling and Printing course.
Ekigendererwa mu ssomo lino kwe kusobozesa abayizi okwetandikirawo ekippya naddala mu sayaansi ne tekinologiya akozesa ebifanaanyi.
Omubaka wa butuluuki mu Uganda Fikret kerem agamba nti bannayuganda we banayiga emisomo gino bajja kwongera okuyiiya n’okusobola okukendeeza ku bbula lyemirimu.
Kerem ategezezza nti bagenda kwongera okwatagana ne Uganda muntekateeka yokutendeka abayizi mu bya tekinologiya ne sayaansi kubanga bino ensi ezikuze kwezitambulira.