Amawulire

Owemyaka 70 alumiriza abamagye okubba ettaka

Owemyaka 70 alumiriza abamagye okubba ettaka

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Waliwo namukadde owemyaka 70 alumirizza amagye, okumubbako yiika ye eye ttaka mu district ye Moroto.

Joyce Namyang ategezezza akakiiko akanonyereza ku ndoliito ze ttaka mu gwanga, akomulamuzi Catherine Bamugemereire nti ekibinja kyamagye ekyokusattu mu bumenyi bwamateeka baamusindikiriza okuva ku ttaka lye nebalyezza, yye nasigala emombozze.

Ono agamba nti ettaka eryogerwako yalisikira okuva ku kitaawe mu 2005 wabula oluvanyma, abmagye banawuka okukayanira ettaka lino, nga bagamba nti lyabwe

Agambye nti basooka kumugaana kuzimba atenga yali aguze ebikozesebwa.

Mungeeri yeemu abantu b’eKalamoja balajjanidde gavumenti ebayambe ku banakigwanyizi abefunyiridde okubbanga ettaka lyabwe.

Omubaka wa gavumenti e Moroto Peterkhen Locap alopedde akakiiko nti abababbako ettaka bakozesa obukodyo, ngabamu basooka kubatuuza mu misomo gyebye ttaka nayenga ebigendererwa byakubba ttaka.