Amawulire
Kabuyonjo ebutikidde babiri ne bafiirawo
Bya Prossy Kisakye, Abatuuze b’eNtongolo mu kitundu kye Buwampa mu district ye Buikwe bagudemu ensasage abavubuka babiri okuva mu nju emu kabuyonjo bwe babutikidde gye babadde basima ne bafiirawo n’abalala 3 basimatukidde ku bw’akatonda
Abagenzi bategerese nga okadda George ow’emyaka 27 ne joseph anyinye ow’emyaka32 nga bonna batuuze b’e Buwamba nga babadde basima kabuyonjo y’essomero lya Mt. Galilee primary school
Bakawonawo banyonyodde nti babadde bakasimako fuuti 23 mu kuka wansi ate mu bugazi babadde ku fuuti 33.