Amawulire
Kattikiro alabudde ku bbago lye mwanyi
Bya Shamim Nateebwa
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti, okuwagira abalimi be mwanyi okusobola okutuuka ku mutindo kwebetaaga, mu kifo kyokwagala okubasiba.
Owembuga Mayiga ayongedd nakuba ebituli bbago gavumenti lyegenda okuleeta ku balimi be mwanyi, okuberanga ne layisni, okubowa ewanyi zaabo abatatukiriza mutindo nokubasiba, wamu nobuwayiro obulala.
Alabudde nti waddenga okulungamya okulima wamnyi kwetagisa naye, ebbago ssi ddungi era nasab ababaka obutaliyisa.
Bino abyogeredde mu lutuula olwokutaano, olwomulundi ogwa 26 olutudde amaky aga leero.
Mungeri yeemu Kattikiro alabudde abaddukanya team zamasaza ku ffujjo eritndise okweyeka.
Kino kyadirira okulwanagana kwabwagizi ba Mawokota ne Buddu omwafiira nomuwagizi.
Agambye nti wandibaawo ekkobaane mu banatu abamu okulaba ngmipiira gyamasaza giyimirizibwe.