Amawulire
Wuuno eyakuba muganda w’ennyondo
Bya Ruth Anderah
Omuvubuka ow’emyaka 25 asimbiddwa mu mbuga z’amateeka navunanwa omusango gw’okwefulira muto we namukuba enyondo ku mutwe namubbako piki piki ye.
Gerald Semombwe asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Olive Kazarwe amusomedde omusango gw’obutemu n’obunyazi nagwegaana.
Kigambibwa nti ono omusango yaguzza nga Novermber 10th 2016 e Busega mu Kampala, Semombwe yatta mutoowe Ssekanjako Geoffrey eyali omugoba wa boda boda e Kibuye mu Kampala.
Kigambibwa nti yalimbalimba muganda we nti amutwaleko e Busega alabe muganzi we wabula bwebatuuka mu kazikiza namwefulira namukuba enyondo ku mutwe ekyamuvirako okufa.
Omusango gwakudamu okuwulirwa nga July 24th.