Amawulire

UCC eragidde Salt TV yewozeeko kubya Bugingo

UCC eragidde Salt TV yewozeeko kubya Bugingo

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akakiiko kebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda communications commission kayise abaddukanya omukutu ogwa Salt TV ku bigambibwa nti bavumira ku TV.

Mu kiwndiiko ekifulumizddwa akakiiko, bagamba nti baafunye okwemulugunya ku biki aba salt TV byebateeka ku mpewo.

Abemulugunya bagab nti waliwo ebibaddenga bifulumira ku TV eno, nga bavuma Teddy Bugingo, nga mateeka okunonyereza kugenda kukolebwa.

Kati aba TV eno balagiddwa okulabikako bewozeeko.

Akakiiko era kategezezza nti ssinga abawaabye banakakasa nti bino byebogerako, kinaaba kikontana namateeka gebyempuliziganya, agalagira obutawereeza bijungulula mpisa okuva mu bantu.

Bugingo kigambibwa nti yasinziira ku TV  mu kusaba, navuma mukyala we Tddy Bugingo gwayagala bamuwukane naye nga bweyali atonnya okumala emyaka 10 nga tamuwa na kaboozi.