Amawulire

Poliisi ya kusubwa nyo omugenzi Kisembo

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2019

No comments

Bya Moses Ndahye, Ssenkagale wa poliisi mu ggwanga martin ochola ayogedde ku mugenzi John Kisembo eyaliko ssaba poliisi weggwanga lino ng’omuntu abadde omukulembeze omulungi, ayagala eggwanga lye songa abadde assa ekitiibwa mu buli muntu.

Kisembo yasa ogwenkomerero ku lwokuna lwa sabiitii eno ku ddwaliro lya Platinum hospital mu Kampala.

Senkagale wa poliisi Ochola bwbadde ayogerako eri abakungubazi abakunganidde ku ekelezia ya our lady of Africa church Mbuya okusabira omwoyo gw’omugenzi, omugenzi amwogedeko nga omusilikale abadde ow’amaanyi era nga bakumusubwa nyo.

Kisembo wafiiridde nga aweza egyobukulu 64, yafudde kirwadde kya kokolo womu bulago.

omugenzi wakuziikibwa olunaku lwenkya ku biggya bya bajjajjabe e Kitema mu disitulikiti ye Kagadi.