Amawulire
Munnamateeka Sendegeya attemuddwa
Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti ye Kisoro etandise okunonyereza ku butemu obukoledwa ku munnamateeka Isaac Sendegeya enkya ya leero .
Isaac Sendegeya attiddwa bamukwata mmundu bwabadde ayingira geeti y’omu makage bwabadde yakava mu tawuni ye Kisoro ku kyalo Nturo mu gombolola ye Nyakinama.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi Elly Maate atubuulidde nti poliisi wetukidde nga abenganda ne baliraanwa balinyiriddedda ekifo awabadde obutemu nga nomulambo bagutute mu nyumba ekiyinza okubakalubiriza okufuna obujulizi.
Kati Maate agamba nti balinze binaava mu alipoota y’eddwaliro wabula nga gw’omuyiggo ku batemu gutandise.