Amawulire
Omukazi atemye omwana wa mujja we
Bya Sadat Mbogo
Poliisi ye Kyengera eriko omukazi gw’ekutte nga kigambibwa nti yakkakkanye ku mwana wa muggya we n’amutemaatema, nga wetwogerera ali mu ddwaliro afuna bujjanjabi.
Omukwate ye Nakintu Angella, nga kigambibwa nti yatemyetemye Joel Katende ow’eyaka 6.
Kigambibwa nti kino kyadiridde omwana okuva Ku ssomero lya bwebabadde bamusindise okukima fees, nagenda omukyala ono gy’akolera olwo n’amutema akambe ku mutwe n’eku mikon, ngamunenya okumulumba ku mulimu nokumukeera.
Wabula bakazi banne nga bakulembeddwamu Justine Nakityo olwabitegedde nebamutabukira nebamukuba bubi nnyo oluvanyuma nebamutwala ku poliisi.
Bamunenyezza nnyo okuddira obuggya n’abuteeka ku mwana mu kifo.
Poliisi egamba nti ekyanonyereza.