Amawulire

Omuzungu asabye okweyimirirwa

Omuzungu asabye okweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Kooti enkulu e Masaka etaddewo olwanga 24 omwezi gwomusanvu lwlwokusattu lwa wiiki eno, okulamula ku kusaba kwa munnansi wa Germany okwokweyimirirwa.

Bwabadde alabiseeko mu maaso gomulamuzi Dr. Winfred Nabisinde, munamateeka wa Bernhard Glaser nga ye Caleb Alaka agambye nti embeera yobulamu bwomuntu we bugenda bwononek buli kadde, nga yetaaga okugenda afune obujanjabi.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Aisha Naluze lwanukudde, ku kusaba kwono, nti bbo betegse omusango gwono gutandike okuwlirwa era ayanukule ebimuvunanibwa.

Omuzungu ono nga ye ssenkulu wkeitongol ekilabirira abataliiko mwairizi ekya Ssese Humanitarian Service, ku mwalo gwe Mwena avunanibwa emisango 19 okuli okubawazaabaana, nokukusa abaana.