Ebyobulamu
Siriimu akwata mangu nga yakakwata omuntu
Kizuuliddwa nti omuntu aba yakafuna obulwadde bwa mukenenya aba asinga mangu omulala ssinga wabaawo okwegatta
Ab’akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya bagamba nti akaseera kano kabulabe nnyo
Omusawo okuva mu kakiiko kano, Dr Vinand Natulyaagamba nti mu ssabiiti 3 oba nnya, omuntu nga yakafuna obulwadde buno buba butambula nnyo.
Prof Natulya agamba nti mu kino kiva ku mubiri okuba nga munafu ate ng’akawuka kano kaba kapya nga kakyalina amaanyi.