Amawulire

Uganda airlines yakutandika okusaabaza abantu

Uganda airlines yakutandika okusaabaza abantu

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Enyonyi ya Uganda kyadaaki efunye license egikkiriza okusaabaza abantu okuva eri ekitongole ekidukanya ebyentambuza z’enyonyi ki Uganda Civil Aviation Authority.

Kino kitegeza nti Uganda airlines kati yaddembe okutandika eddimu ery’okusabazza abatambuze

Eno yalina kutandika okukola mu mwezi guno ogwa kasambula wabula olw’obutaba na certificate omulimo ne gw’ongezebwa okutuusa omwezi ogujja.

Wabula okusinzira ku certificate tereddwako omukono director wa CAA Samuel muneeza Uganda airlines ekkirizibwa okusabaza abantu okuva nga 25th july okutuusa nga 25th july wa 2020.