Amawulire

Entekateeka z’emikolo gy’amattikira zifulumye

Entekateeka z’emikolo gy’amattikira zifulumye

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ng’ebula ennaku 2 zokka okutuuka ku mattikira gomutanda agomulundi ogwa 26th, Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Mutebi 11  asiimye okulambula amaka gekika kye Ffumbe ne Mamba mu ssaza lye Busiro.

Kino kyakukolebwa nga tanaba kuwaayo enyumba eyazimbiddwa eri omusajja eyakutuka omugongo, eyazimbiddwa mu ntekateeka ye eyokujuna abali mu bwetaavu.

Kati bwabadde ayanjula entekateeka yamattikira gomutanda Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, agambye nti bingi ebigenda okukolebwa, nga nomugenyi omukulu ye Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, Kabaka we Sokoto mu mambuka ga Nigeria, asubirw aokutuuka olunnaku lwenkya.

Entikko yemikolo gyamattikira egenda kubaawo ku Lwokusattu lwa wiiki eno, nga July 31, 2019 ku ttendekero lya Nkumba University e Entebbe.

Emikolo gyomwaka guno jivugidde ku mubala obukulembeze obwensonga nokutrumbula ebyenjigiriza nebyobulamu.

Zzo entekateeka zigenda mu maaso mu ssza lye Busiro lyonna, nga betegekera omutanfda

Kabaka Mutebi yaatuzibwa ku Namulondo yab jajja be nga 31 mu July wa 1993 oluvanyuma lwenteseganya ezamaanyi wakati wa Mengo ne gavumenti eya wakati, nekomyawo obwabaka.