Amawulire
Omusomesa abadde asiyaga abayizi bamukutte
Bya Sadat Mbogo
Poliisi mu district ye Mpigi eriko omusomesa wa pulayimale mu ssomero ly’obwananyini, gw’ekutt ku bigambibwa nti yaakidde omuyizi we n’amusulika ennenge.
Omukwate musomesa ku ssomero lya Buyijja Modal P/S erisangibwa mu tawuni kanso ye Buwama.
Kigambibwa nti ono abadde yenyigira mu bikolwa bino, ng’abaana abalnezi abatwala mu nnyumba ye nabasiyaga, ati okumala omwaka mulamba.
Atwala poliisi ye Buwama Albert Natumanya agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso, oluvanyuma ono waakugulwako emisango.