Amawulire

Abantu 3 bakwatiddwa ku bubbi bwa Boda Boda

Abantu 3 bakwatiddwa ku bubbi bwa Boda Boda

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2019

No comments

Bya Shamim  Nateebwa

Poliisi mu Ndeeba eriko abavubuka abalala 3 bekutte abagambibwa nti bali mu kabinja kyabatemu, abatta aba bodaboda ne bababbako piki piki zaabwe.

Bano okukwatibwa kyaddiridde okusiba munnaabwe akandooya nebamutuga nga bamulumiriza okubaguliza ku poliisi n’ekwata Mugisha eyalabikira mu katambi ng’atuga owa bodaboda.

Abakwate kuliko Adam Namudaala, Shafik Matovu ne Sharif Gitta, ng’okukwatibwa kiddiridde abatuuze okuzuula omusajja Robert Ndiika eyakazibwako erya Brown, ng’asibiddwa akandooya emikono n’amagulu, gwebabadde basudde okumpi n’omwala gwe Nalukolongo e Kabowa.

Kati abatuuze abasoose kulowooza nti mulambo kwekuyita poliisi, nebazuula nti yabadde kyali mulamu.

Poliisi okuva awo yazinzeeko ekibanda kya Namudaala ekisanaibwa mu Nsiike I mu Ndeeba, nga wano weebaakwatira Mugisha gyebabasanze.

Poliisi etegezezza ngabakwate bwebagguddwako omusango gw’okugezaako okutta omuntu.