Amawulire

Omutemu basibye emyaka 50

Omutemu basibye emyaka 50

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Kooti enkulu e Masaka eriko omusajja gwesindise mu kkomera yebakeyo emyaka 50, olwokutemula mukwano gwe.

Vincent Mpagi abadde mu maaso gomulamuzi Dr. Winfred Nabisinde amusingiszza emisango 2 okuli obutemu nobwa kkondo.

Omuwaabi wa gavumenti Amina Akasa atagezezza kooti nti omuvunanwa, nga 3rd mu April wa 2018 ku kyalo Kaswa mu district ye Lwengo yakakatana ne jambiya nembazi nalumba mukwano gwe gweyali amanyi oblungi Mike Matovu, namautta olwo namubbako essimu ye eyomu ngalo, TV kika kya flat screen, nensimbi enkalu akakadde 1 nemitwalo 20.

Ababairi bano besanga mu kkomera nebafuuka abaomukwano, wabula bwebavaayo, ono nakola ku munne obutemu.

Omulamuzi Nabisinde agambye nti ku musango gwobutemu amusibye emyaka 35 nobwa kkondo emyaka 15.