Amawulire
Abe Jinja bekalakaasa olw’okufa kwa dereva
Bya Abubaker Kirunda
Abatuuze mu town council ye Namutumba e Jinja bavudde mu mbeera nebekakaasa, nga bavumirira okutibwa kwa dereva wa taxi.
Omugenzi ategerekeseeko lya Brayan nga kigambibwa nti mukama we Steven Muwanika, nanyini taxi yeyamukubye ku mutwe nafa.
Bano kigambibwa nti baafunye obutakanya, ku nsonga etanaba kutegerekeka.
Kati kino kyekijje abatuuze mu mbeera
Omwogezi wa poliisi mu Busoga east James Mubi agambye nti bakyanonyereza ku butakanya buno.