Amawulire
Omuntu afudde ekirwadde ky’omusujja ogwa crimean fever
Bya Prossy Kisakye, Omuntu omu akakasidwa okuba nga avudde mu bulamu bw’ensi eno na balala 49 bateredwa mu kasenge ak’enjawulo oluvanyuma lw’ekirwadde ky’omusujja ogwa Crimean-Congo Hemorrhagic Fever okubalukawo mu disitulikiti ye in Lyantonde.
Okusinzira kwatwala eby’obulamu mu disitulikiti eno Dr Moses Nkanika, Vincent Bayinda abadde omusuubuzi w’ente obulwadde bw’amukwata ku lw’okusatu lwa sabiiti ewedde wabula tasabodde ku busimatuka.
Ono asambaze amawulire agasoose okusasaana nti bayinda yafudde kirwadde kye Ebola bwategezeza nti omugenzi basoose ku mwekebejja ne kizuulibwa nti alina ekirwadde ky’omusujja gwa Crimean fever
Ddembe Fm eyogeddeko n’omwogezi wa ministry ye by’obulamu mu ggwnag Emmanual Ainebyonna nategeeza nti ekirwadde kino kyalumbye ebitundu bya balunzi b’ente eludda eyo wabula nga abakugu basindikidwa okusobola okwetegereza embeera.