Ebyobusuubuzi
Ente zirumbiddwa ekirwadde
Bya Abubaker Kirunda
Ekirwadde kya Anthrax kikaksiddwa mu nte, mu district ye Mayuge.
Ente 4 zezakafa ku kyalo Buswikira mu gombolola ye Mpungwe.
Omu ku balunzi mu kitundu kino Zubairi Luganda agambye nt ente endwadde zizimba amagulu, nobubonero obulala nezifa.
Kati atwala ebyebisolo mu district ye Mayuge Dr Mathias Kasadha akaksizza ekirwadde kino.
Wabula agumizza abalunzi nti tewali kikanga ekirwadde kino kibali mu ngalo, tekigenda kusasaana.