Amawulire
Abakaka baganiddwa okutuuka awazimbibwa e ddwaliro lye Lubowa
Bya Shamim Nateebwa, Kampuni eya Finasi roko construction SPV nga yeyaweebwa omulimu gw’okuzimba eddwaliro galikwoleka mu bitundu bye luboowa efulumizza ekiwandiiko ekinyonyola kw’ebyo ebibadewo emisaana galeero .
Kino kiddiridde ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga, abakungu okuva mu Minisitule y’ebyobulamu nga bakulembeddwamu Minisita w’eby’obulamu Jane Aceng wamu n’omuwandiisi w’enkalakalira mu ministry ye by’obulamu Doctor Diana Atwine bwe bagaaniddwa okuyingira e Lubowa awalina okuzimbibwa eddwaliro galikwoleka.
Mu kiwandiiko kino aba Finasi /Roko construction SPV limited bategezza nga ebibadewo kiddridde okuba nga tebategezedwako ku kukyala kuno mu budde okusobola okubetegekera naddala mu by’okwerinda okuba nga tewabawo mutawaana gwonna gubatukakao.
Era baweredwa amagezi okufuna olunaku olulala olwo kulambulirako ekifo kino.
Kigambibwa nti PS Keith Muhakanizi yawandiikidde Omumyuka wa Palamenti Jacob Oulanyah nga agaana bano okugendayo