Amawulire
Abantu 4 babakutte ku bubbi bwa pikipiki
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi e Iganga eriko abantu 4 begalidd nga bateberezebwa okwetaba mu bubbi bwa pikipiki.
Abakwate batuuze ku byalo Igamba ne Nampirika mu munispaali ye Iganga.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi agambye ti bano babasanze ne pikipiki 2 namba UDM 831/H ne UAE 750/G ezigambibwa okubeera enzibe.
Mubi agambye nti baakanunula pikipiki 6 ezaali zabbibwa okuva mu district ye Buyende nebazileeta e Iganda okuzitunda.