Amawulire
Ow’emyaka 6 talina ssente z’abujanjabi
Bya Shamim Nateebwa
Waliwo omwana ow’emayaka 6 eyalwala ensigo n’akawago ali mubulimi obutagambiika oluvanyuma lwokubulwa ensimbi zobujanjaabi.
Nelson Muwaya ow’emya ka 6 yatawanyizibwa obulwadde nga mu kiseera kino afuuyisa musaayi.
Okusinziira ku maama womwana ono, Nakalema Fiina ow’emyaka 30 omutuuze w’e Nagojje mu district y’e Mukono agamba nti mutabani we yalwala mu 2017, nga addukira mu ddwaliro e Kayunga ne bamukebera nebabategeeza nti omwana alina omusujja gwa Typhoid era nebatandika okujjanjaba.
Wabula Nakalema agamba nti embeera yagenda eyongera kwonooneka kwekugenda mu ddwaliro erisingako.
Agamba nti e Mulago baabasabye akakadde 1 okusobola okumulongoosa wabula zebatalina.
Wano alajanidde abazira kisa okubaddukirira.