Amawulire

Embuzi gy’ebakwatidde mu nnimiro y’omutuuze bajisaze

Embuzi gy’ebakwatidde mu nnimiro y’omutuuze bajisaze

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Polisi ye Kawempe ku Katale eriko omusajja gwegalidde ku bigambibwa nti baamukutte ne nnyama y’embuzi enzibe.

Omukwatte ye Fred Byabagambe amanyiddwa nga Ssaalongo Mbwa omutuuze w’e Kawempe.

Kigambibwa nti ono yakutter embuzi eyamuliridde emmere olw’obusungu, n’agisala ng’ensonga gy’awa nti embuzi yamuliiridde kasooli we.

Akulira ebyokwerinda ku kyalo kino Joseph Segayi avumiridde ekya mutuuze munnaabwe okumala gabaaga embuzi eno, nga tamaze kulinda nannyini yo.