Amawulire
Abalimi baweereddwa amagezi
Bya Prossy Kisakye, Amyuka omukwanaganya w’entekateeka ya gavumenti eya bonna bagaggawale eya operation wealth creation Lt Gen Charles Angina awadde abatekateeka okuyingira ekisaawe kye by’obulimi amagezi okweyambisa amapeesa asatu okuli eryo kwewaayo, okulemerako ne nneyisa okusobola okunoga enusu mu mulimo guno.
Angina agamba nti omuntu yenna okufuna mu by’obulimi alina okubeera n’ebisatu ebyo kuba mu mawanga agakula edda ababikozesa bafunyemu.
Ono agamba nti ebiseera ebisinga wano mu ggwanga abalimi bwebafuna amakungula amalungi olwo nebatandika okweyozako ennaku nga bagula buli kafankunali owokwejalabya ne kivaamu nga basigalirawo nga tebanatuuka na ku makungula gadako.
Angina awadde abalimi amagezi gabusa bulijjo okweyigiriza empisa okuza ensimbi mu bintu ebivaamu ensimbi mu kifo kyokuzibwebweena