Amawulire
Abalwadde ba siriimu bavudde ku ddagala olw’obutaba na mmere
BYA YAHUDU KITUNZI
Abantu 1400 abawangaala n’akawuka ka mukenenya ku malwaliro ag’enjawulo mu district y’e Mbale basazeewo okuva ku ddagala olw’obutaba na mmere.
Atwala eby’obulamu mu district ye Mbale Dr. Jonathan Wangisi agambye nti abalwadde abasinga tebakyajja kunywa ddagla, nga bawa ensoga y’obwavu okutuuka okubulwa eky’okulya.
Wabula agambye nti bagenda kutondawo ekibinja kyabakugu okugenda mu byalo okubazuula, basobole okubazaamu amaanyi bade ki ddagala.
Omuwandiisi era avunanyizibwa ku kukuuma ebibalo ku ddwaliro lya Bufumbo Health Centre IV nga ye Innocent Khaukha, agambye nti waliwo nabalwadde 400 abejja webanywera eddagala okugenda ku malwlairo amalala nga tebasoose kufuna lukusa.
Kati omwogezi wa ministry yebyobulamu Emmanuel Ainebyona, agambye nti ebibao biraga nti siriimu mu gwanga ayimiridde ku 6% waddenga wabaddewo okukendeera, naye bikyelaikiriza.
Abantu emitwalo 5 mu 3,000 bebappya abakwatiddwa nawokeera, atenga emitwalo 2 mu 3,000 bbo bafudde mu kabanga akayise.