Ebyobulamu
Abantu bajja bakendeeza ku mirundi gyebegatta
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ebirowoozo bya ssente bivuddeko abantu bangi obutayoya kwegatta na baganzi baabwe
Kigambibwa okuba ng’abantu bangi abali wakati w’emyaka 16 ne 44 tebegatta na kuweza mirundi 5 mu mwezi.
Bangi ku bano olw’okubeera n’ebirowoozo bya ssente emitima gifiira ddala neberabira baganzi baabwe
Wabula ate era abanonyereza bagamba nti n’emikutu gy’empuliziganya gikoze kyamaanyi okukendeeza emirundi abantu gyebegatta kubanga bangi computer bazifuula bakyala na baami.
Okunonyereza kuno kukoleddwa mu Bungereza