Ebyobulamu

Okunywa sigala butwa eri abalina mukenenya

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

smoker

Abantu abalina obulwadde bwa mukenenya ate nga banywa sigala bakendeeza obulamu bwaabwe era nga tebasobola kuwangaala nga banaabwe abatamunywa.

Akulira ekibiina ekirwanyisa omuze gw’okunywa sigala, Gilbert Muyimbi agamba nti sigala ono anyway omuntu n’abeera ng’awewuka ekinafuya omubiri gwe olwo n’endwadde endala nezimulumba.

Ono era asabye abanywi ba sigala okufuba okukomya omuze guno bwebaba nga bakuwangaala