Ebyobulamu

Tutundire eddagala mu mikebe

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

tablets

Kkampuni ezitunda eddagala zigamba nti zifiiriddwa ensimbi mpitirivu oluvanyuma lwa gavumenti okuyimiriza okutunda eddagala mu bikebe.

Akulira abatunzi b’eddagala mu kkampuni ya Kampala pharmaceuticals Uganda Limited Nazeem Mohamad agamba nti okussa eddagala mu buveera kwebakubisanya amanya g’eddagala lino kwa buseere nnyo.

Mohammed agamba nti n’amawanga agaliraanye Uganda agaagula nga wano eddagala tegakyakikola kubanga eddagala lyalinnya ebbeeyi.

Ono agamba nti amawanga gano kati gaddukira mu ggwanga lya Kenya etaliiyo mateeka nga gano.

Bano bagaala gavumentie bakkirize eddagala liddemu okupakirwa mu bikebe.