Amawulire

Aba NUP basabidde bannauganda abawambibwa

Aba NUP basabidde bannauganda abawambibwa

Ivan Ssenabulya

February 27th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Senkagale wékibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi alambalidde bannadiini bagamba nti besulideyo gwannagamba ku butali bwenkanya obugenda mu maaso mu ggwanga.

Bino Kyagulanyi abyogeredde ku mukolo ogwokusabira abantu bonna abawambibwa mu biseera byokulonda nga nokutuusa kati tebamanyidwako mayitire , nabo abali mu malwarilo oluvanyuma lwokutulugunyizibwa teberabiddwa.

Abamu kubawambibwa ne batebwa baliko bye bogedde

Kyagulanyi wano wasinzidde nayambalira bannaddiini obutafaayo kwogera ku bigenda mu maaso mu ggwanga

Kyagulanyi agumiza abantu baabo abawambibwa