Amawulire

Omutuuze ayagala bannamateeka ba Kyagulanyi babawumuze

Omutuuze ayagala bannamateeka ba Kyagulanyi babawumuze

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omutuuze, Job Richard Matua addukidde mu kakiiko aka Law Council ngasaba nti bawumuzze bannamateeka 7, abali mu musango gwa Robert Kyagulanyi Ssentamu, olwokweyisa mungeri etagwanidde.

Bannamateeka abogerwako, kuliko Anthony Wameli, Medard Lubega Sseggona, Shamim Malende, Erias Lukwago, Nkunyingi Muwadda, Abdullah Kiwanuka ne Asuman Basalirwa.

Ono agamba no bano baliko ensobi nnyingi zebazze bakola mu musango, ezimanyiddwa zebatatekeddwa kukola, songa babadde basinziira neku radi nebogera ebitagwanidde.

Bano era abanenya okutatana erinnya nekitiibwa kya ssabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo.

Kino agamba nti era kinafuya kooti nobwesige abantu bwebzirinamu.

Kati ayagala banamateeka bano bawumuzibwe, okuva ku mirimu.