Amawulire
Bobi alaze olukalala olulala lwabantu 423 ababuzibwawo
Bya Ritah Kemigisa
Akulembera NUP Robert Kyagulanyi Sentamu olwaleero aliko olukalala olulala lwafulumizza lwabantu 423 bagamba nti babuzibwao, era tebamnyikiddwako mayitire.
Olunnaku lwe ggulo minisita wensonga zomunda mu gwanga Jeje Odong, yabadde alaze olukalala lwabantu 177 eri palamenti nategeeza nti abasing bakyakumibwaku kambi yamagye e Makindye ku misango egyenajwulo.
Wabula aolukalala luno ababaka baluwakanyizza, nga nebibalo byabadde tebigatta.
Kati Kyagulanyi, agambye nti ku lukalala olwa Odongo, kuliko abantu 89 bokka kwabo bebamanyi nti babuzibwawo.
Kati atadde gavumenti ku nninga erage abantu bonna gyebali.
Kinajjukirwa nti mu kusooka Kyagulnyi yafulumya olukalala lwabantu 243 abatamnyikiddwako mayitire.