Amawulire

Gavt yakuteeka obuwumbi 200 mu matendekero gébyémikono

Gavt yakuteeka obuwumbi 200 mu matendekero gébyémikono

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavt yakuteeka obuwumbi 200 mu matendekero agemirimu gyomumutwe mu mwaka gwe byensimbi ogujja ne kigendererwa ekyokuwa abavubuka obukugu bwebaneyambisa mu kisawe kye bye mirimu

Bino byogeddwa minisita omubezi owe byensimbi David Bahati, bwabadde ayogerera ku mukolo ogw’okujaguza nga bwegiweze emyaka 18 bukya ttendekero lya African Peer Review Mechanism (APRM) litandikawo

Bahati, agamba nti okuteeka ensimbi mu matendekero bwegati kyakuyambanyo akatale ke mirimu okugendamu abavubuka evvumuulo abalina obukugu bwonna obwetaagisa ku lwenkulakulana

Wabula agamba nti amatendekero gano gabadde gasanga ekizibu kye bbula lye nsimbi nobutaba na bikozesebwa gavt kwekugaddukirira kuba gayambako mu kulamawo ebbula lye mirimu.