Amawulire

Uganda etongozza okugema COVID-19

Uganda etongozza okugema COVID-19

Ivan Ssenabulya

March 10th, 2021

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Uganda olwaleero etongozza entekateeka zokugema ssenyiga omukambwe COVID-19, n’omulanga eri abamawulire nabakozesa emikutu muyunga bantu, bewale okusasanya obulimba.

Entekateeka eno etongozeddwa, omumyuka wa ssabaminista we gwanga asooka Gen Moses Ali ngagambye nti waddenga, amawulire ku COVID-19 getagisa, getaaga kuva mu baukugu era abamanyi bokka, ssi buli muntu asanze.

Abamu ku bebasokeddeko okugema, kubaddeko minisita omubeezi owebyobulamu Robinah Nabbanja, omubaka wa Belgium kuno nabalala.

Mungeri yeemu, abasawo okuyita mu kibiina ekibagatta, Uganda Medical Association basiimye gavumenti olwokubeteeka ku mwanjo mu bantu abatekeddwa okusooka okugemebwa ssenyiga omukambwe, COVID-19.

Bwabadde ayogerera ku mukolo gwegumu, ku ddwaliro lyabakyala e Mulago, Pulezidenti wekibiina ekigatta abasawo Idro Richard agambye nti buno buwanguzi obutukiddwako, mu lutalo olwokulwanyisa nabe wa COVID-19.

Ku mukolo guno, akulira ekitngole kya UNCEF mu Uganda Dr. Mohamed El Munir ayongedde okukakasa nti eddagala lino ddungi, teririna bulabe bwonna.

Alaze obulabe bwa ssenyiga omukambwe, kubanga abaana obukadde 15 bebakosebwa ebyokusoma bwebyagotaana.

Agambye nti bali mu ntekateeka, okufuna doozi obukadde 3 okugema abayizi ng’omwezi gwomunaana tegunatuuka.