Amawulire

KCCA ekwataganye nába Road Fund okuzimba enguudo

KCCA ekwataganye nába Road Fund okuzimba enguudo

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekidukanya kibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority, kikwataganye ne kitongole kye byenguudo ekya Uganda Road Fund okuzimba enguudo 5 mu kampala mu kawefube owokukendeza ku mugoteko gwe bidduka.

Entekateeka eno yakumalawo obuwumbi bwensimbi za Uganda 14 songa enguudo ezigenda okukolebwa kuliko Mapeera Road lwakuwemmenta obuwumbi 3.5bn, Muganzilwazza – Shs1.5bn, Nsambya – 1.75bn ne Kikubamutwe -3.85bn ne Bunyonyi – 3.5 bn

Okusinzira ku Nankulu we kibuga Dorothy Kisaka enguudo zino si mpavu nyo naye zakuyambako okukendeza ku mugoteko.

Bino abyogedde alambula omulimo ogwokudabiriza Centenary Park wegutuuse nagamba nti guyimiridde ku bitundu 85%