Amawulire

Kabaka Mulamu Katebule

Kabaka Mulamu Katebule

Ivan Ssenabulya

March 15th, 2021

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga akaksizza Obuganda nti Omutanda ali mu mbeera nnungi, era nasambajja ebyogerwa nti mulwadde muyi ali ku mugo gwantaana.

Bwabadde ayogerera mu Lukiiko lwa Buganda e Bulange, Kattikiro Mayiga agambye nti omutanda ali Kabaka gyeyagenze okulambula ku Nnamasole Margret Siwoza eyalwaridde mu ddwaliro e Nairobi.

Mayiga agambye nti Ssabasajja Kabaka, Empologoma ya Buganda asubirwa okukomawo mu gwanga, ennaku ezijja.

Owembuga wayogeredde bino, nga waliwo oluvuvumo oluyitingana ku mbeera yobulamu bwomutanda.

Kabaka yali asubirwa okulabikako eri Obuganda, ku mpaka za’Masaza ku kisaawe kya St Mary’s e Kitende ku ntandikwa y’omwezi guno wabula teyalabikako.

Mungeri yeemu, Kattikiro mu bubaka bwe avumirirdde engeri enonno nobulombolombo gyebugenze butyobvoolwa mu mikolo gyokwanjulwa.

Kaikkiro avumiridde enyambala embi, okwejeguula, okuleeta ebitagwanidde nebirala.

Owembuga ajjukizza abazadde nti bebalina okulungamya abaana, abagenda okwanjulwa ku byebatekeddwa okukola nobutakola.