Amawulire
Abasomesa b’eMakerere beyawuddemu ku kediimo
Bya Damalie Mukhaye
Abasomesa ku ttendekero ekkulu, Makerere University betemyemu ku nsonga zakediimo kaabwe kebalangirirra.
Eno abamu basomesa atanga abalala bagenda mu maaso nekyalangirirrwa ekibiina ekibagatta, okuteeka wansi ebikola.
Omwezi oguwedde abasomesa bonna mu matendkero ga gavumenti aga waggulu bateeka wansi ebikola, okutuusa nga gavumenti ebsasaudde ssente zaabwe obuwumbi 129, eze nyongereza ku msala gyabwe nga bwekyakanyizbwako.
Wabula abakulu e Makerere, balabudde abasomesa baabwe obutagezaako kwegatta ku kediimo kano.
Omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero e Makerere Prof Barnabas Nawangwe agambye nti babaddenga bagezaako okulondoola abasomesa bano okukakasa obanga ddala bebulankanya, naye bazudde nti abasing bsomesa.
Abasomesa ku College of health Sciences bonna, agambye nti gyebali basomesa, wabula abayizi ku college of Humanities and social sciences, neku Education batubuliidde nti abasomesa babadde tebajja okubasomesa.
Ssentebbe owekibiina, Makerere University academic staff association Deus Kamunyu, agambye nti wewaawo kituufu waliwo abasomesa naye bebatono abasing bateeka wansi ebikola.