Amawulire
Obulwaliro 73 bugaddwa e Masaka
Bya Malikh Fahad
Ekitongole kye ddagala mu gwanga, National Drug Authority baliko obulwaliro 73 bwebagadde e Masaka nga babadde bakola nga tebalina layisinsi.
Kino kidirirdde ekikwekweto ekikoleddwa mu disitulikiti ezikola obwagagavu bwe Msaaka okubadde Kalungu, Masaka, Sembabule, Bukomansimbi ne Kyotera.
Ku bulwaliro obutonotono 207, bwebalambudde bazudde nga 73 tebatekeddwa kukola.
Kyomukama Samuel akulira ebyokukwasisa amateeka mu NDA, agambye 184 bubadde bulwaliro bwa ddagala lyabantu, 28 batunda ddagala lyabisolo, pharmacy 4, clinic 4 nga kubaddeko natunda eddgala ly herbal oba ery’omuddo.
Abamu layisinsi zaabwe zibadde zagwako, nayenga bakyesisigirizza okuzizz obugya.
Awamu eddagala lya bukadde 18 nokusoba lyebaboye mu kikwekweto kino.