Ebyobulamu
Obunene tebuliimu kalungi
Abantu bangi beewana okubeera abanene nga bagamba nti bali fiiti era nti tebasobola kulwalwa
Abeewana basaanye okuwulira ku bino
Kati nno abasawo bagamba nti teri bunene bulimu kalungi mu byobulamu
Abasawo bano bagamba nti yadde omunti tabeera na sukaali, pressure kko n’amasavu amatono, era obulamu bwe bubeera mu katyabaga
Abasawo okukakasa kino bakoze okunonyereza ku bantu emitwalo 6.
Abantu bano baludde nga balondoolwa okuva nga bakyaali batono okutuuka okugejja.