Amawulire

Abadde awemula bamugobye ku kyalo

Abadde awemula bamugobye ku kyalo

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akakiiko ku kakiiko Ngandu mu municipal ye Mukono baliko omutuuze munaabwe gwebanabidde mu maaso, bamugobye ku kuyalo lwakukonkonanga mayumba gaba namwandu ngabapeeka omukwano.

Kabengwa Richard owemyaka 40 bagobye ku kyalo nga kigambibwa nti era abadde yefudde mukoko okumokkola, agagambo aganene okukira emizindaalo.

Kati abakulembeze nga bakulembeddwamu ssentebbe Kitenda Ibrahim bamukoledde ekiwandiiko ekimugoba ku kyalo Ngandu.

Ono abatuuze babadde bamwekokola, era bagambye nti osanga banafuna ku buwerero.

Wabula Kabengwa mu kwewozako agambye nti bamulanga byabufuzi kubanga yali ayagala kwesimba ku Ssentebe we’kyalo kino.

Agambye nti n’omukyala gwebamulumiriza okubanja omukwano wa bbaala era babadde batera okunywerayo.