Amawulire
Kabuleta ayambalidde Museveni kubyo’muggalo
Bya David S. Mukooza
Eyavuganya ku bukulembeze bwe’gwanga mu kalulu akawedde aka 2021, Joseph Kabuleeta ayambalidde omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni olw’okuteeka bannaYuganda mu muggalo ogutakoma.
Kinajjukirwa nti mu kwogera kwomukulembeze we’gwanga okwasembayo nga 18 June, Museveni yayanukula Kabuleeta eyatageeza ngabakozesa bwebatalina buyinza kukaka bakozi baabwe okugemebwa ssenyiga omukambwe.
Museveni yategeeza nga naye bwalina eddembe lye ngomukulembeze, okukuuma bananansi okuva eri akawuka ka coronavirus nabantu abakyamu nga Kabuleeta.
Kati Kabuleta avuddeyo okujungulula ebigambo by’omukulembeze we’gwanga n’okuwakanya omuggalo ogwe nnaku 42, ogusigaddeko wiiki 2.
Mu mboozi eyakafubo n’omusasai waffe, Kabuleeta agambye nti okuteeka bananYuganda mu muggalo ogwokubiri kyali tekigwanidde era kyabwewussa.
Ono agambye nti omukulembeze we’gwanga nabamuwabula, kyebasaanye okukola kwekuleka abantu bakole, wabula bateeke essira ku bantu okugoberera amateeka nebiragiro byabatwala ebyobulamu, okwekuuma n’okwetangira COVID-19.
Ono agambye nti mu muggalo ogwasooka, abantu baafanga n’ebirwadde ebiralala, olwokulemererwa okufuna obujanjabi, nebirala bingi ebyabakosa okuli obwavu obufumuuka ng’evvu atenga embeera yeemu gyebataddemu banansi neku mulundi guno.
Kabuleta ayogedde ku nsimbi, Ssabaminisita we’gwanga Robinah Nabbanja zagabira abafuna mpola ku masimu okubayambako mu muggalo, agambye nti tezigenda kuyamba bantu kyamaanyi.
Awabudde nti abantu babagulewo bakole okwebezaawo, kubanga gavumenti tesobola kubagabirira.