Amawulire
Museveni akyusizza abawandiisi b’enkalakkalira
Bya Ritah Kemigisa
Ebitongole byobwanakyewa babanja omukulembeze we’gwnga anyonyole ku nkyukakyuka zeyakoze mu bakozi ba gavumenti okuli abawnadiisi abenkalakkalira.
Omukulembeze we’gwanga yakoze enkyukakyuka mu bakungu 7.
Abawumuziddwa kuliko Kintu Guwatudde abadde omuwandiisi owenkalakalira mu wofiisi ya Ssabaminista we’gwanga, ngono akyalina emisango mu kooti egyekuusa ku bulyake olwemivuyo egyetobeka mu kugula emmere gyebalira abantu mu muggalo ogwaliwo omwaka oguwedde.
Abalala kuliko Pius Wakabi abadde mu minisitule yebyobulimi, Amb Patrick Kibirige abadde mu minisitule yensonga ze bweru we’gwanga, David Ebong, Benn Mutambi ne Kivumbi Lutaaya, Jane Kibirige abadde kalaani wa palamenti bawumuziddwa.
Abappya abalodeddwa n’okukyusibwa, Ramathan Goobi alondeddwa, ye muwandiisi owenkalakkalira mu ministule yebyensimbi.
Betty Kamya ye Kalisoliiso wa gavumenti nabalala.
Kati bwabadde ayogerako naffe Sarah Bireete, akulira ekitongle kya Center for constitutional governance agambye nti enkyukakyuka zomukulembeze we’gwanga zino ziriko akabuuza.
Bireete era akubye tooki mu bawandiisi abenkalakkalira abalondeddwa mu bitongole ebyenjawulo.