Amawulire
Poliisi erabudde amasomero ku bukujjuko
Ebigezo bya bya PLE ebyomwaka 2020, bigenda kufuluma olwaleero.
Minisita webyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni yagenda okufulumya ebigezo bino, ng’omukulo gugenda kubeera mu maka gobwa pulezidenti Entebbe.
Wabula apoliisi erabudde abakulu bamasomero ku kutegeka ebikujjuko, nti kinaaba kimenya ebiragiro byomuggalo ku ssenyiga omukambwe.
Fred Enanga ye mwogezi wa poliisi.
Omugatte abayizi emitwalo 74 mu 9,761 bebatuula ebigezo nga ku bano, emitwalo 39 mu 5,855 ebitundu 53% bawala, ate emitwalo 35 mu 3,957 abakola 47% balenzi.
Akulira ebyamawulire ku kitongole kyebigezo ekya Uganda National Examinations Board Jenipher Kalule agambye nti ebigezo bino ebyakolebwa mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe, byakugerageranyizibwa ku biralala ebibaddenga bikolebwa.
Eri abazadde okumanya abayizi baabwe bwebakola, balagiddwa okuyita ku maismu.
Owandiika message PLE nolekawo akabanga, tekamu index number yomuyizi mu bujjuvu, osindike ku 6600 nga kikola eri emikutu gyonna.