Amawulire
Kampala ne Wakiso bebaleebezza disitulikiti endala mu PLE
Bya Damalie Mukhaye
Disitulikiti ye Kampala ne Wakiso bebaleebezza, abalala mu masomero okukola obulungi ekibiina ekyomusanvu.
Amasomero mu disitulikiti zino, okufananako nemyaka ejiyise, gegasinze okuyisa abayizi mu ddaala erisooka neryokubiri.
Okusinziira ku byava mu bigezo byekyomusanvu ebayomwaka 2020, ebyafulumiziddwa ekitongole kyebigezo Uganda National Examinations Board ku lunnaku Lwokutaano, abayizi emitwalo 65 mu 9,000 bebayise era baakweyongerayo nokusoma kwabwe ku mutendera oguddako.
Kati okusinziira ku bibalo, Kampala yeyakulembedde okuyisa abayiiz obulungi nekuddako Wakiso.
Wabula disitulikiti okuli Kapchocrwa, Buvuma, Amudat, Nabilatuk ne Nakapiripit bakaoze bubi nnyo, ngabamu tebafunye wadde omuyizi eyayitidde mu ddaala erisooka, abalala baafunye babalirwa ku ngalo.
Bweyabadde afulumya ebigezo bino mu maka gobwa pulezidenti Entebbe, minisita webyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni okukola obubi kwabayizi mu byalo yakitadde ku bulagajjavu bwabazadde.
Yagambye nti bangi mu byalo tebafaayo okuyambako abaana baabwe okusoma.