Amawulire
Emiwendo gyabalwadde ba COVID-19 gyongedde okukendeera
Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa
Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegekera egwanga National Planning Authority bagamba nti babusabuusa omuyaga ogwokusattu ogwekirwaddde kya ssenyiga omukambwe, mu kiseera kino nge n’emiwendo gyabalwadde abappya gyongedde okukeneera.
Mu ntekateka yaabwe eya buli wiiki nga banyonyola ku mbeera yobulwadde mu gwanga, bagambye nti mu kubala okwawamu abalwadde bakendedde nabantu 454 mu mwezi gumo ogwomusanvu.
Wabula mu kutebereza bagambye nt basubira abalwadde abappya 3,177 wakati 18 ne 24 July.
Ate wakati wa 25 ne nnaku z’omwezi 31 July, basubira okufuna abalwadde 3,036.
Bino webijidde ngemiwendo gyabalwadde abappya gikendedde okuva ku 417 ab’olunnaku lweggulo okudda ku 265.
Bino bijidde mu bibalo minisitule yebyobulamu byefulumizza, okuva mu kukebera kwebakola nga 17 July 2021.
Minisitule era eriko abantu 39 abafudde beyafunye, omugatte abakafa COVID-19 nebawera 2,392 nabalwadde abawamu nebawera emitwalo 9 mu 656.
Uganda wetwogerera era erina abalwadde 939 abali mu malwaliro, oluvanyuma lwabantu emitwalo 6 mu 8,241 okuwona.