Amawulire

Rwanda eketta abakungu ba Uganda

Rwanda eketta abakungu ba Uganda

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2021

No comments

Bya Daily Monitor

Gavumenti esabiddwa okwongeramu amaanyi, okunyweza ebyokwerinda mu byemitimbagano.

Kino kidiridde alipoota eyafulumye ku mutendera gwensi yonna, oluvanyuma lwokunonyereza okwakolebwa aba Organized Crime and Corruption eyalaze nti Rwanda ebaddenga eketta abakungu aba waggulu mu gavumenti ya Uganda.

Alipoota eno yafulumye ku lunnaku lwa Bbalaza, era kyategezeddwa nti Rwanda ebaddenga erumika amsimu gabakungu bano.

Bano kuliko abadde Ssabaminisita we’gwanga Dr Ruhakana Rugunda, abadde minisita we’nsonga zebweru we’gwanga Sam Kutesa, nabadde addumira amagye ge’gwanga Gen David Muhoozi.

Abalala kuliko Joseph Ocwet okuva mu kitongole ekikessi ne Fred Nyanzi Ssentamu muganda wakulira oludda oluvuganya gavumenti Robert Kyagulanyi.

Kati bwabadde ayanukula ku alipoota eno, omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo, agambye nti amaanyi gakyetagisa okuzimba obukuumi nebyobukessi mu gwanga.

Agambye nti ensi ejjuddemu obukessi atenga ku mauwlire gano, kwetambulira.