Amawulire
Abalwanirizi béddembe Lyóbuntu basabye Gavt ku byókugema Covid
Bya Prossy Kisakye
Akakiiko akalwanirira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission kasabye govumenti okwanguyirizako munteekateeka yaayo eyókugula eddagala erigema ekirwadde kya Ssenyiga omukambwe okusobozesa bannauganda okugemebwa mu budde bafune obukuumi okuva eri akawuka ka corona akakambwe.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kyákakiiko mu Kampala, kamisona akikiridde sentebe wa kakiiko kano Dr Patricia Achan Okiria alaze obwenyamivu olwentekateeka eyokugema abantu okutambula akasoobo ekiyinza okuvako okweyongera kwekirwadde.
Agambye nti abantu okugemwa mu bungi kijja kwetaagisa gavt okusosowaza ensonga yókugula eddagala nokugema bannauganda bweba yakutukiriza ekirubirwa kyayo.
Okusinzira ku minisitule eye byóbulamu abantu abasoba 230,000 bebakafuna doozi eyókubiri ye ddagala erigema ekirwadde ate abalala abasoba mu 1.1m bebakafuna doozi esooka.