Amawulire
Bannakyewa basabye palamenti ekyuse kungeri abantu gye bafunamu empereza ya Gavt
Bya Prossy Kisakye,
Bannakyewa wansi wékibiina ki Initiative for social Economic Rights basabye palamenti ekyuse mu kakwakulizo akómuntu okuba ne ndaga muntu okusobola okuganyulwa mu pulogulamu zaayo naddala eri abantu abenkizo.
Bano bwebabadde balabiseko mu maaso ga kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku kikula kyábantu bagambye nti ekjya gavt okulagira abalina okuganyulwa mu pulogulamu okuli eya bakadde okufuna akasimbi aka buli mwezi, okuwa obuyambi obwamangu nga bagudewo ekizibu, eya bavubuka okusooka okulaga endaga muntu zabwe kikyamu.
Okusinzira ku mukwanaganya wémirimu gyékibiina kino, Brian Alex Kiira asabye gavt ekyusemu ngómuntu bwaba ne bimwogerako ebirala gamba nga ebbaluwa ya LC asobola okuyambibwa.
Ssentebe wa kakiiko kano, omubaka omukyala owa Kyegegwa district Flavia Rwabuhoro Kabahenda, agambye nti nábakyala bakalubirizibwa okufuna satifiketi zóbuzaale bwabaana babwe olwóbutaba na ndaga muntu